Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,341 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Ssaabasajja Kabaka aguddewo Olukiiko lwa Buganda olwa 31

August 21, 2023 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo Olukiiko Olwa 31 olwa Buganda.

Bino wammanga byebimu kyabyayogedde;

“Tuyozaayoza abaami abalondeddwa. Tubaagaliza obuweereza obulungi, obujjudde Obumalirivu obutaliimu nkwe. Abavubuka balina okwegomba enkola zammwe. Nga bagoberera amateeka awamu n’ennono.

Tusaba Abantu baffe okwetegereza enkola z’Abaami okubatwala nga ekyokulabirako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Wadde waliwo okusomooza mu by’obulimi n’okugwa kw’ebbeeyi y’ebintu, abantu baffe tubakubirize obutakoowa.

Gavumenti etwale eby’obulimi ng’essomo ekkulu ennyo lisomesebwe okutuuka mu Siniya abaana bayige eby’obulimi nga bakyali mu masomero.

Tukyawulirayo abantu baffe abasengulwa ku ttaka mu bitundu ebitali bimu. Bwe bagenda mu mbuga z’amateeka kitwala ebbanga ddene okuwulirizibwa. Tusaba abali mu mateeka okusalawo emisango egyo mu bwangu.”