Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 213 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ssaabasajja Kabaka aguddewo emipiira gy’amasaza

November 20, 2021 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo emipiira gy’amasaza egy’omwaka guno 2021 mu kisaawe kya fufa Technical Centre e Njeru mu Kyaggwe.
Mu gugguddewo Kyaddondo ekubye ba nnantameggwa b’omwaka oguwedde aba Gomba ku goolo 2-0.
Omupiira gwetabiddwako;
Omulangira Richard Ssemakookiro, Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita wobuyiiya n’enzirukanya yemirimu Oweek Assoc Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule n’omumyukawe Oweek Ahmed Lwasa, Ssaabawolereza w’Obwakabaka oweek Christopher Bwanika, Omwogezi w’Obwakabaka Oweek Noah Kiyimba, Minisita webyemizannyo Owek Henry Sekabembe Kiberu, Bajjaja Abataka Abakulu b’Obusolya, ababaka b’olukiiko, Abaami b’Amasaza, bannabyabufuzi, Abakulu b’ebitongole n’abakungu abalala abawerako.
#MasazaCup2021