Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 205 listening Simba FM Live

Ssaabasajja Kabaka agguddewo olukiiko lwa Buganda

August 15, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alabiseeko eri Obuganda enkya ya leero okuggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 24 olutuula mu mbuga enkulu e Bulange Mengo.

Beene atuuse ku ssaawa nga ttaano ezokumakya wakati mu namungi w’abantu abadde alinze okumwaniriza era bw’atuuse n’alamusa engoma Mujaguzo ne Buganda Bumu ate oluvannyuma n’ayolekera olukiiko.

Mu kwogera kwe Omutanda avumiridde omuze ogukyase ogw’okubuzaawo n’okusaddaaka abaana, n’akoowoola Gavumenti eya wakati okuggyayo enjala okukanngavvula abo abeenyigira mu kwonoona eddembe lyabwe. 

Omutanda ayongeddeko bwati ;       “Tusaba abazadde okufaayo ku ntambula z’abaana baabwe n’abo bebalekera abaana”.

Ssekaliba ka Ngo akulisizza abo bonna abeeyanzizza obwami n’abasaba ensonga z’ebika okuzissa ku mwanjo.