Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 412 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ssaabasajja bamuwadde amakula ga nnyumba 3 e Kigo

April 6, 2023 · Mubiru Ali
Kkampuni eyapatana omulimu gw’okuzimba ennyumba z’Obwakabaka e Kigo eya Guoji Cooperation Ltd, ewadde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II amakula ga nnyumba ssatu ezizimbiddwa e Kigo.
Amakula gano bagakwasizza Katikkiro Charles Peter Mayiga oluvannyuma ajja kuganjulire Ssaabasajja Kabaka. Katikkiro; “Mu nnono zaffe Ssaabasajja Kabaka aweebwa amakula era aba Guoji baakitegeera era kwekuwaayo ennyumba zino. Obwakabaka bwetegefu okukolagana n’abantu bangi, naye twagala okukolagana naabo abamanyi kyebakola, tetwagala mikago gya kuba bifaananyi twagala emikago egireeta enkulaakulana erabibwako. Bwokolagana n’omuntu nga kyaliko akimanyi ng’era akyagala, kyetaaga n’omunyweza.