Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 437 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ssaabasajja asiimye okulabikako eri Obuganda – Katikkiro

April 6, 2023 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda nga ennaku z’omwezi 13 omwezi guno nga ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 68.
Katikkiro Charles Peter Mayiga weviiriddeyo nasaba amasinzizo gonna mu Ggwanga okusaawo okusaba okw’enjawulo okw’okwebaza omutonzi olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka.
Ku nteekateeka eno, kuliko Olwookutano nga 7, Abayisiraamu okubaako n’Edduwa ey’enjawulo gye basomera Ssaabasajja, Abaseveniside ku Lwoomukaaga nga 8, ate AbaKulisto, ku Ppaasika nga 9, April, 2023.