Ssaabasajja akoze emikolo ku Muzibwazaalampanga

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Enkya ya leero Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akoze emikolo egikulembera egyakamaliirizo mu kuzzaawo ennyumba Muzibwazaalampanga, Beene yennyini awanise ebizizi ebisatu ebikulu ebisookerwako mu bizizi byonna ebyetoolodde eddaali ebyennyumba Muzibwazalampanga.
Ssaabasajja Kabaka alinnye amadaala okukkaatiriza obukulu obw’omulimu ogwakolebwa Bajjajjaabe okuzimba ennyumba Muzibwazaalapanga.
Obuvunaanyizibwabwe obumu abwabulizaako Omugabe we Omulangira Daudi Chwa Omwana w’Omulangira Micheal Ndawula Omwana wa Ssekabaka Muteesa II.
Share.

Leave A Reply