Breaking
News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 164 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Ssaabapoliisi ayimirizza 3 ku bakulu mu Police

June 7, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabapoliisi General Kale Kayihura  ayimirizza basatu ku ba Police abakulu mu Busoga  omuli ne A.S.P Sam Omala .

Aduumira Police mu ggwana General Kale Kayihura awummuza aba Police basatu abali mu bifo ebya waggulu mu bitundu bya Busoga nga mw’otwalidde ne A.S.P Sam Omala lwakuteeberezebwa kwenyigira mu mivuyo egyali mu kulonda okwaliyo nga  18.02.2016 .

Sam Omala abadde akulira ebikwekweto mu bukiika kkono bwa Busoga , Ashraf Chemonges aduumira Police mu bitundu bya Busoga ne Bashir Ssempala abadde DPC wa Namutumba .

Ate mu balala abawummuziddwa IP Henry Mugoda, OC w’ekitebe kya Police mu gombolola ye Kibale wamu n’omumyukawe Kevin Akite . Bano bonna bayimiriziddwa basobole okunoonyerezebwako mu mivuyo egyali mu kulonda mu Disitulikiti ye Namutumba ne Tororo .

Polly Namaye , amyuka omwogezi wa Police akakasizza bino .

Kinnajjukirwa nti omwezi oguyise General Kayihura yeetondera abantu mu bitundi bye Bukono mu Disitulikiti ye Namutumba olw’emivuyo egyetobeka mu kamyufu . Yawalirizibwa okwetonda oluvannyuma lw’abatuuze okwemulugunya ku Afande Chemonges olw’okuba ne kyekubiira .

Wano abatuuze beemulugunya ku Chemonges olw’okulaga obuwagizi bwe mu lwatu eri Micheal Saire eyali avuganya Persis Namuganza eyalondebwa ku bubaka bwa Palamenti obwa Bukona County .