Ssaabaminisita wa Ethiopia aweereddwa omuddaali

Pulezidenti Museveni olunaku lwaleero asiimye Ssaabaminisita wa Ethiopia Abiy Ahmed Ali omuddaali e Birembo mu Kakumiro disitulikiti.

Abiy aweereddwa omuddaali oga ‘The Most Excellent Order of the Pearl of Africa medal’ ogusingayo mu middaali gya Uganda nga asiimwa olw’emirimu gyeyakola mu kuyamba Olukalu lw’Omuddugavu okufuna obwetwaaze.

Abazira abalala 250 nabo baweereddwa emiddaali okubasiima olw’ebirungi byebakoledde eggwanga okulaba nti obutebenkevu wamu n’eddembe libukala mu ggwanga.

Mu balala abasiimiddwa era nebawebwa emiddaali kwekuli Teodoro Obiang Mbasogo Pulezidenti wa Equatorial Guinea.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Pulezidenti Museveni atongozza enguudo mu Gulu