Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 37 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ssaabalamuzi alonze Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi omuggya

July 2, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabalamuzi wa Yuganda Bart Katureebe alonze omumyuka wa Registrar Vincent Emmy Mugabo okuba Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi mu ggwanga. 

Mugabo okulondebwa kwe kutandikiddewo okukola era nga agenda kukola emirimu emiggya egy’okwogerera ekitongole ate n’okusigala ku gyabaddeko egy’okumyuka Registrar avunaanyizibwa ku gy’obusuubuzi mu kkooti enkulu mu Kampala.

Ensoga zino zonna zaategeezeddwa abakozi bonna mu kitongole kino nga ennaku z’omwezi 30 ogwomukaaga omwaka guno era nga eyataddeko omukono  ye Paul  Gadenya Walimbwa nga ye Chief Registrar.

Mugabo agenda kukwasaganya ensonga z’okwogerera ebitongole ekiramuzi wamu n’ekolagana yaakyo n’abantu bonna mu ggwanga era agenda kukulemberamu awamu n’okukolera awamu n’abakugu abawerako ku nsonga ezikwatagana n’ebyempuliziganya .

Ssaabalamuzi Katureebe yasiimye Erias Omar Kisawuzi abadde akola mu kitongole kino awamu n’omukyala Ssali Harriet abadde amumyuka nti kubanga bakozi omulimu makula ddala. Kisawuzi ye asigazza yaafeesi eya Registrar ku Kunoonyereza awamu n’okutendeka ku nsonga ezitali zimu mu kitongole ekiramuzi ate nga ye Ssali agenda kuba omusigire wa Registrar mu kkooti ejulirwamu n’ekotongole kya Kkooti ekiwozesa emisango eminene ddala.