Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 314 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Ssaabalamuzi alayizza akakiiko k’ebyokulonda akaggya

January 17, 2017 · Mubiru Ali

Ba Kamiisona b’akakiiko k’ebyokulonda balayizizddwa olunaku lwaleero Ssaabalamuzi Bart Katureebe era n’ategeeza abantu bano omusanvu, nti balina okufuba okulaba nga bakola bulungi n’okwongera okutereeza erinnya ly’akakiiko k’ebyokulonda ate n’okugondera amateeka .

Bart Katureebe yaakulembeddemu omukolo gw’okulayiza abantu bano oguyindidde ku kkooti enkulu mu Kampala era n’abategeeza nti tebalina kuba na kyekubiira, nga tebalina kulemererwa kubanga bonna balina obukugu obumala okukola emirimu egiboolekedde.

Ssaabalamuzi ayongerako nti abantu bano banaaba basudde eggwanga singa banaabako ensobi zebakoze .

Ye mukwogerakwe Omulamuzi Byabakama asuubiza okufuba okulaba nga akakiiko k’ebyokulonda kongera okulaba nga keetongodde nga ate ne ba memba b’akakiiko kano bakola emirimu gyabwe nga bagoberera amateeka