Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 346 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Ssaabalamuzi alayizza abalamuzi abaggya

July 5, 2022 · Mubiru Ali
Ssaababalamuzi wa Yuganda Alfonse Chigamoy Owiny-Dollo yakulembeddemu omukolo gw’okulayiza abalamuzi n’abakozi mu kitongole ekiramuzi abawerera ddala 85 abaggya ku mukolo ogubadde ku Kkooti Enkulu mu Kampala.
Abalamuzi bano n’abalala baalondebwa gyebuvuddeko okujjuza ebifo by’abalamuzi mu kitongole ekiramuzi okusobola okukendeeza ku bungi bw’emisango egikandaaliridde mu Kkooti ez’enjawulo olwobutaba n’abalamuzi bagiwozesa nga kuno kuliko abalamuzi mu Kkooti ez’emitendera egy’enjawulo n’omuwandiisi wa kkooti omu.