Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omuggya, Dr. Stephen Kazimba Mugalu atuuziddwa mu butongole

Ku mukolo guno obwakabaka bukiikiriddwa Katikkiro, Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’enzirukanya y’emirimu n’obuyiiya Owek Prof Twaha Kigongo Kaawaase, Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Namasole Margaret Siwoza, Nnabagereka Sylivia Nagginda, Baminisita ba Kabaka, n’abaami ba Kabaka abawerako.

Mu bubakabwe, Katikkiro agambye nti,

“Tukwenyumirizaamu nnyo olwobutasuula nnono nokubeera musajja wa Kabaka . Mu buweerezabwo olumirwa nnyo bannayuganda nesonga ezibakwatako. Okubeera Ssaabalabirizi buvunaanyuzibwa bunene.

Nesiga nti Katonda ajja kukubeera okozese obuyinza bwakuwadde twongere okufuna emirembe nokutebenkera wamu nenkulaakulana.

Ennaku zino ebikolwa eby’obukambwe n’ettemu bingi nnyo, n’abantu bangi nnyo abalina obusungu ku mitima, ate nabakirisito bangi bali mu bwavu. Nga Ssaabalabirizi toleme kutulungamya ffenna tusobole okuvuunuka okusomoozebwa kuno”.

Ssaabalabirizi omuggya, asuubizza okukyuusa embeera z’abantu naddala okukwata ku baana abalenzi nabo basobole okufuuka ab’omugaso mu ggwanga.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

1 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

23 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon