Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 285 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Ssaabalabirizi w’Abadeventi akyaddeko ku Radio Simba

September 15, 2023 · Mubiru Ali

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Seventh Day Adventist mu Ggwanga Omusumba Dr. Moses Maka Ndimukika yasiimye empeereza eyenkulaakulana Radio Simba gyetuusa ku Bannayuganda wamu n’enkolagana ennungi wakati waayo n’ekkanisa y’Abadiventi kwossa n’okwebaza Katonda olw’emyaka 25 Simba gyewezezza. Bino yabyogedde olunaku lw’eggulo bweyakyaddeeko ku Simba nasisinkana abagikulembera nebakubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo wamu n’okunyweza enkolagano wakati wa Radio Simba n’ekkanisa y’Abadiventi. Ye General Manager wa Radio Simba Mw. Collin Mutambo mu bigambo bye yateegezezza nti okukyala kwa Ssaabalabirizi kabonero akongera amaanyi mu mirimu gya Simba eri Eggwanga ne Nsi yonna.