Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 521 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ssaabalabirizi alabudde ku bagenda ku kyeyo mu Buwalabu

October 23, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda,  His Grace,  Stanely Ntagali alabudde abavubuka ba Yuganda okukomya okudduka mu ggwanga nga beeyuna amawanga ga Buwalabu okukolayo emirimu gyebasuubira okubaako omusaala omusava wabula nga ate n'emirimi gyebagenda okukola tebagyekakasa oluusi ekibaviirako okubonaabonera mu mawanga ago. 

Ssaabalabirizi asinzidde Mulago mu Kampala  ku kkanisa eyabbulwamu Omutukuvu Lukka gy'abadde ku mirimu gy'obuweereza n'ategeeza nti Bannayuganda bangi bafiiridde mu mawanga ago nga abamu battiddwa ate abalala nebawalirizibwa okwetta bokka na bokka olw'embeera zebayitamu kino nekiviirako abantu baabwe okusigala mu nnaku etagambika. 

Agamba nti Gavumenti kigigwanidde okwagizisa abavubuka okwetandikirawo emirimu mu kifo ky'okunoonya emirimu mu mawanga ag'ebunaayira