Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Speaker ayimirizza olutuula lwa Parliament

August 15, 2018 · Mubiru Ali

Parliament eyimiriza olutuula lwayo okumala essaawa nnamba nga ab’oludda oluvuganya Gavumenti betaaga okumanya banaabwe abakwatiddwa gyebali. Ekiteeso kino kireeteddwa akulira oludda oluvuganya Gavumenti Betty Aol Ocan. Ono agamba nti ebifaananyi ebiri ku social media eby’omubaka Zaake bwebiba bituufu basaanye bamanye babaka banaabwe gyebali.

Omumyuka asooka owa Ssaabaminisita Moses Ali agambye nti talina kyakuddamu mu kadde ako nasaba bamuweeyo akadde akole okunoonyereza.

Speaker wa Parliament Rebecca Kadaga ayimiriza olutuula okutuuka ssaawa 4:45pm nga bwebalinda okuddibwamu okuva mu Gavumenti.