Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 127 listening Simba FM Live

South Africa yaakwabulira kkooti y’ensi yonna

October 21, 2016 · Mubiru Ali

South Africa etandise okubaga ku nteekateeka zaayo oz’okwabulira kkooti y’ensi yonna (ICC) nga bagamba nti egenderera kunyigiriza Bafirika.

Nabwekityo esindise ekiwandiiko ekyoleka ekiruubirirwa kyabwe eri ekibiina ky’amawanga amagatte , kino wekiggyidde nga ne Burundi y’akamala okuyisa ekitteeso ky’okuwanduka mu kkooti y’ensi yonna.

Kinajjukirwa nti mu mwaka oguyise, South Africa yagaana okugombamu obwala omukulembeze w’eggwanga lya Sudan, Omar Al – Bashir bweyali agenze mulukungaana lw’amawanga g’olukalu lwa Africa olwatuula mu kibuga Johannesburg songa nga yali yeetaagibwa Kooti y’ensi yonna awerennembe n’emisango gy’ekitta bantu wamu n’okuwakula entalo .

Ebitongole by’amawulire eby’enjawulo nga ne Luboggola mweri bifunye ekiwandiiko ekiraga okuwanduka kwa South Africa mu nteekateeka eno nga kiteekeddwako  omukono Minisita  avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga owa South Africa .