Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,844 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Soroti Yunivasite etandika gwa kkumi

August 9, 2017 · Mubiru Ali

       Yunivasite ya Gavumenti esookedde ddala mu bitundu bya Teso, etuumiddwa Soroti Yunivasite egenda kutandika okuwandiika wamu n’okusomesa  abayizi mu mwezi gwa  Mukulukusabitungotungo omwaka guno.

Kinajjukirwa nti okutandikawo Yunivasite eno kwakakasibwa Palamenti y’eggwanga era n’egattibwa mu Yunivasite za Gavumenti mu Kasambula wa 2015 era nga erina kubangula bantu mu busawo ku bukugu mu ddagala , abasomesa abagenda okubangula abantu mu sayansi n’okukanika era  nga yali erina okutandika okusomesa mu Muwakanya wa 2016 wabula neetasobola olwa Gavumenti okulemererwa okusasula kkampuni eyaweebwa omulimu gw’okuzimba ebizimbe by’ettendekero lino eya Engineering and Trade Uganda Ltd.

Ssentebe w’olukiiko olutwala Yunivasite eno Francis Xavier Lubanga agamba nti kati ebizimbe byawedde era emisimo gigenda kutandika kukwajja.