Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 260 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

solomon sserwanja tumunoonya – Sp Onyango

February 7, 2019 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano SP Patrick Onyango avuddeyo n’ekiwandiiko ku Bannamawulire abakwatiddwa ekiro kyajjo. Poliisi egamba nti nga eri wamu n’ebitongole byebyokwerinda ebirala batemezeddwako nga bwewaliwo ekibinja ky’abantu ababadde bagula eddagala lya Gavumenti ekimenya amateeka.

Ekikwekweto kyakoleddwa era nebakwata abantu basatu nga bagula eddagala lino era n’abalala babiri nebakwatibwa oluvannyuma. Ku basatu abakwatiddwa nga bagula eddagala kuliko  Godfrey Badebye, Shafiq Kisame ne Rashid Kaweesa. Bano bakwatiddwa Makindye we babadde balindira agenda okubaguza eddagala lino. Oluvannyuma Poliisi yakutte Vivian Nakaliika era nga bwebabuuziddwa bagambye nti erimu ku ddagala lyebabadde baguze babadde balikweese ewa Solomon Sserwanja e Mukono.

Abasirikale ba Poliisi bagenze mu maka ga Sserwanja nebasalako ekifo kyonna awabadde wasuubirwa okubeera eddagala lino okutuuka ku makya basobole okutandika okulinoonya. Bategeezeddwa nti Sserwanja teyabadde waka era Poliisi nemukubira okujja agulewo ennyumba wabula teyalabiseeko.

Poliisi yagenze mu maaso okukebera ennyumba ya Sserwanja nga waliwo Vivian Nakaliika mukyala wa Sserwanja wamu n’abenganda ze abalala. Abasirikale ba Poliisi basanze ebbokisi 14 ez’eddagala lya Lumefantine, wamu n’eddagala erigema Hepatitis B wamu n’eddagala eddala nga liriko laama za Gavumenti.

Mukyala Sserwanja yatwaliddwa ku Poliisi okukola sitaatimenti era nagalirwa. Kati Poliisi eri ku muyiggo gwa Sserwanja okugiyamba aginnyonyole engeri eddagala lya Gavumenti gyeryatuuka ewuwe.