Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 166 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Sobi Police emuyimbudde, kati alya butaala

January 17, 2018 · Mubiru Ali

Police awatali kakwakkulizo konna etadde omusajja Paddy Sserunjogi ayakazibwako erya Sobi akulira ba Kifeesi wamu ne banne babiri,  Shafiq Kigozi ne Tim Twaha era nga kino kyakoleddwa akawungeezi ka jjo oluvannyuma nga baggyiddwa ku Police y'e Nsangi ne batwalibwa e Nalufenya mu Jinja . 

Police ku ntandikwa ya wiiki eno yagombyemu obwala abasajja bano nga ebajja ku Rose Gardens Hotel e Kyengera ebeeko byebabuuza oluvannyuma lw'okuyita ab'amawulire nebategeeza eggwanga nti bebali bebatta abantu ate n'okubabba mu Kampala.

Ggo amawulire agava e Nalufenya galaga nti abakulira ekkomera lino baafunye ebiragiro  okuva waggulu mu bakama baabwe okuta abantu bano era ye Emilian Kayima omwogezi w'ekitongole kya Police akakasizza nti abantu bano baateereddwa !!