Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 272 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Sipiika yali ayagala tunoonyereze ku UG Airlines mu kyaama – Hon. Ssenyonyi

January 21, 2023 · Mubiru Ali
Ssentebe w’Akakiiko ka COSASE Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Joel Ssenyonyi; “Ntegeezeddwako nti Sipiika Anita Among yayise abamu ku Bammemba ku Kakiiko ka COSASE mu Offiisi ye nabasaba batandika okubaga ekiteeso ekinzigyamu obwesige olwobutaba nampisa wamu n’okunnyomoola ebiragiro bye. Bwetwali tunoonyereza ku Uganda Airlines, yampandiikira ebbaluwa ngampa amagezi obutakiriza bamawulire mukunoonyereza kuno wabula nange namwanukula ngamutegeeza nti tewaliwo kintu kyonna kyetaagisa kukweka Bamawulire ate nga namazima n’ebitongole ebirala byali binoonyerezebwako abamawulire tebagobwa.
Twatandikira ku kugoba Bamawulire Bannayuganda baleme kumanya bigenda mu maaso, kati alipoota agituulidde, naye olunaku lumu amazima gali manyibwa. Nekirala mu bbaluwa ye yasiima omulimu omulungi ogwali gukolebwa COSASE, wabula yakyuusa endowooza ye bwetwandika okubuuza ku alipoota.
Mu kadde kano tujja kusigala ngatukola omulimu ggwaffe. Wiiki ejja tugenda kutandika kunoonyereza ku mirimu gya Palamenti (The Parliamentary Commission kali wansi wa COSASE).”