Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 305 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Sipiika Oulanyah ayongezzaayo olutuula lwa palamenti okutuusa wiiki ejja

September 21, 2017 · Mubiru Ali

Amyuka omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Hon. Jacob Oulanyah awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa Palamenti okutuusa ku Lwokubiri olujja oluvannyuma lw’ababaka ab’oludda oluvuganya Gavumenti okulemesa emirimu gya Palamenti okugenda mu maaso nga bayita mu kuleekaana awamu n’okuyimba oluyimba lw’eggwanga .

Olwaleero lwelubadde olunaku olw’ababaka b’akabondo ka NRM okuleeta ekiteeso eky’okukola ennongoosereza mu ssemateeka okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga , wabula Palamenti egenze okutuula nga ekiteeso kino kiggyiddwa ku lukalala lw’ebyo ebirina okuteesebwako wabula Sipiika Oulanyah n’annyonnyola nti ekiteeso kyakuggya ssabbiiti eddako ekintu ekiggye ab’oludda oluvuganya mu mbeera nga baagala kisalibwewo leero kubanga tebakyetaagira ddala mu Palamenti.