Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 437 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Kadaga awadde Minisitule y’ebyenjigiriza nsaleesale ennyonnyole ku ky’okuggala amasomero

January 30, 2018 · Mubiru Ali

Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Rebecca Alitwala Kadaga awadde Minisitule evunaanyizibwa ku byenjigiriza n'emizannyo nsaleesale wa Lwakuna luno eveeyo erambulule bulungi ku nsonga y'okuggala amasomero agatalina bisaanyizo .

Kino kijjidde mu kiseera nga omubaka mu Palamenti ow'essaza ly'e Kibuku Hebert Kinobere okuvaayo neyeemulugunya ng'agamba nti enteekateeka y'okuggala amasomero kati yaakazingiramu lukumi mu bisatu (1300) agaakaggalwa ky'agamba nti kigenda kukosa nnyo abazadde. 

Kinobere ayagala Palamenti ewalirize Minisitule eyimirize enteekateeka eno kubanga abayizi abamu bali kumpi okudda ku masomero nga n'abalala bazzeeyo ky'agamba nti kigenda kutaataaganya okusoma kw'abayizi.