Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,025 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Sipiika goba Munyagwa ku bwa Ssentebe bwa COSASE – Bavubuka

June 1, 2019 · Mubiru Ali
Ekibinja kya Bannayuganda 100 kivuddeyo nekiwandiikira omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga nga baagala ayimirize akakiiko ka COSASE okuddamu okunoonyereza ku vvulugu mu Bbanka Enkulu ey’eggwanga naddala obuwumbi 478 bwebalemerwa okuwaako embalirira mu kakiiko akaali kakulemberwa Abdul Katuntu.
Bano nga bakulembeddwamu Kakulu Sam Brian omuyizi asoma amateeka ku UCU bagamba nti Ssentebe wa COSASE omupya Hon. Mubarak Munyangwa agezaako kuzannyira ku Babaka banne nga awa Dr. Louis Kasekende omwaganya okuwa embalirira y’obuwumbi 478 bwebalemererwa okunnyonyolera omulundi ogwasooka.
Bano era baagala Sipiika agobe Hon. Munyagwa ku bwa Ssentebe kuba atandise okwekobaana n’abakulu okuva mu Bbanka enkulu baddemu okunoonyereza mu kifo ky’okussa munkola ebyalambikwa akakiiko ka Katuntu.
Kutandikwa ya Wiiki eno Munyagwa yategeeza nga akakiiko ka COSASE bwekagenda okuddamu okutunula mu nsonga ezagazzaawo Crane Bank.