Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 433 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Sipiika awakanyizza eky’okusasulira ababaka OTT ne Data

May 16, 2019 · Mubiru Ali
Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga avuddeyo n’ategeeza nti takiriziganya nakya Palamenti kusasulira Babaka musolo gwa OTT wamu n’okubagulira data.
Palamenti egenda kusaasanya omukadde 16,560,000 buli mwezi okuwa Ababaka Internet wamu n’okubasasulira omusolo gwa OTT ebya IPads zaabwe zebakozesa.
Ebiwadiiko biraga nti MTN yakuwa ababaka GB 5 buli mwezi ku mitwalo esatu ne OTT wa 6,000 eri buli mubaka buli mwezi.
Sipiika agamba nti n’endagaano eyakolebwa wakati wa Palamenti ne NRM abadde tagimanyiiko nti era agenda kukola okunoonyereza ku ngeri gyekyatuukibwako.
Sipiika agamba nti takiriziganya na ky’ensimbi za muwi wamusolo kusasulira birina kuyamba babaka kukola mirimu gyabwe.