Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 693 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Sipiika Among twatandise okumunoonyerezaako – IGG

May 15, 2026 · Radio Simba

🗳️ Sipiika Among twatandise okumunoonyerezaako – IGG
IGG Justice Aisha Batala Naluzze olunaku olwaleero avuddeyo nakakasa okufuna okwemulugunya okuva eri Bannamateeka era abalwanirizi b’eddembe nga baagala ekitongole kyakulira kikole okunoonyereza okwamaanyi ku byobugagga bwa Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among gwebagamba nti teyagoberera tteeka lifuga bakulembeze erimwetaagisa okwanjula ebyobugagga bwemu bujjuvu. Naluzze ategeezezza nti batandise okunoonyereza kuno era ebinaaba bizuuliddwa byakutegeezebwa Eggwanga. Ono era asabye Bannayuganda okuvaayo baloope abakozi ba Gavumenti bebasuubira nti bebalama etteeka lino.

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug