Breaking
News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 795 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Sipiika alina obuyinza okutwala Palamenti wonna wayagala – Tayebwa

August 8, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa avuddeyo nawolereza ekya Palamenti okutwalibwa mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo nategeeza nti Sipiika alina obuyinza okusalawo wa Palamenti wetuula nti era y’ensonga lwaki Palamenti ezze etuula ku Serena, e Kololo n’ebifo ebirala.
Ayongeddeko nti Ababaka tebafangayo kukubaganya birowoozo ku kukyuusa ekifo werina okutuula.
Tayebwa era asambagizza ebigambibwa nti Palamenti yakukozesa obuwumbi 5 ku lutuula olugenda okubeera mu mambuka ga Uganda wabula agaanye okwogera ssente meka ezomuwi w’omusolo ezigenda okusaasanyizibwa era nategeeza Ababaka nti bakutegeezebwa mu butongole wa entuula gyezinabeera.
#ffemmwemmweffe