Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 370 listening Simba FM Live

Sipiika alagidde banoonyereze ku mubaka Kagaba

August 9, 2022 · Mubiru Ali
Sipiika wa Palamenti, Rt Hon. Anitah Among avuddeyo nalagira Akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa okutandika okunoonyereza ku Mubaka Munnakibiina kya National Unity Platform owa Bukoto South, Dr. Twaha Kagaba eyavuddeyo nazzaayo obukadde 40 ezaweebwa ababaka ba Palamenti okuyisa embalirira eyenyoongereza nga agamba nti ekikolwa kino kiweebula ekitiibwa n’okumenya amateeka agafuga Palamenti. Ye omubaka Kagabo agamba nti kino akikoze kugondera mateeka ga kibiina kye ekya NUP ekyabalagira okuzzaayo ssente zino.
Sipiika alagidde Akakiiko okudda ne alipoota mu mwezi gumu.