Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 531 listening Simba FM Live
News

Sijja kwetondera Kadaga – Hajji Walubi

July 27, 2025 · Mubiru Ali

Ssentebe w’Ekibiina kya National Resistance Movement – NRM mu Disitulikiti y’e Iganga era nga y’omu kubavuganyizza ku kkaadi ya ya NRM ku kifo kyobwa Ssentebe bwa LC5 owa Disitulikiti y’e Iganga Hajji Abubakali Walubi, Gabula Ezra namuwangula.

Ono avuddeyo nakiriza ebyavudde mu kulonda era nayozayoza Gabula eyamuwangudde.

Gabula avumiridde abobukiiko bwokuntikko mu Kibiina kino olwokulemererwa okutegeka obulungi okulonda kwekibiina era nemivuyo gyabadde mingi nnyo.

Ono era yesamudde ebigambibwa nti abalonzi bagaanyi okumulonda olwokuba tawagira Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga ngawagira Sipiika Annet Anita Among kikofo kya CEC.

Walubi alayidde nti kikafuuwe tagenda kwetondera Kadaga.

Bya Willy Basoga Kadama

#ffemmwemmweffe