Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 180 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Sijja kukkiriza yeekangabiriza ku Ssaabasajja kyayogedde – Katikkiro Mayiga

April 8, 2016 · Mubiru Ali

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanirizza Omutaka omuggya  alondeddwa okukulira ekika ky’e Ngeye Hajji Minge Kibirige n’alabula abo abayisa amaaso mu Ssaabasajja kyasazeewo. 

Katikkiro Mayiga bino abikoledde ku mbuga ya Buganda enkulu mu Bulange e Mengo bw’abadde ayaniriza Omutaka Kasuja Kyesimba VII alondeddwa okukulira ekika ky’e Ngeye.

Kigambibwa nti kumpi emyaka 80 nga ekika ky’e Ngeye tekirina mukulu wa kika wankalakkalira okutuusa obwakabaka lwebwenyigira mu nsonga zino nga bayita mu Kootyi ya Kisekwa nezitaggwa okukkakana nga bazijulizza eri Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II  eyakoze okusalawo okusembayo .

Katikkiro Mayiga agamba nti mu Buganda Kabaka ye mukulembeze wokuntikko era y’asalawo ekyenkomeredde era oyo agezaako okufutyanka eby’obuwangwa bwa Buganda waakukolebwako nga amateeka bwegalagira  .

Wabula akubirizza Omutaka Kasujja Hajji  Muhamood Minge okuweereza ekifo kino n’obwesimbu .