Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Sigenda kukola sitaatimenti yonna – Muzeeyi Nathan Okori

April 18, 2022 · Mubiru Ali
Agava mu Disitulikiti y’e Omoro galaga nga Taata w’omugenzi Jacob Oulanyah, Muzeeyi Nathan Okori nti ebya Uganda Police Force okuvaayo okunoonyereza ku kya mutabani we okuweebwa obutwa bwekitalina makulu. Ono ategeezezza; “Nasooka okukyogera nti mutabani wange yaweebwa butwa bwenafuna amawulire nti afudde (20 March) era nenkiddamu mu kuziika kwe, naye savaayo kugamba nti gundi oba gundi yeyamuwa obutwa, kati kiki kyebanoonyerezaako nga sirina muntu gwenamenya? Tebirina makulu.
Ono yayongedde nakakasa nti; “Sigenda kukola sitaatimenti yonna kuba sirina gwenagamba nti yeyawa omwana wange obutwa. Era simanyi yavaayo kuwaaba musango guno. Mpozzi abo abawaaba omusango bebatya ebyo byenayogera. Poliisi tanajja wano kunzijjako sitaatimenti era sijja kukiriza kugikola nebwenajja wano.”