Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 408 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Sheikh Kamoga akaligiddwa obulamu bwonna mu nkomyo

August 22, 2017 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala ewozesa emisango gy’ensi yonna ekalize eyali akulira Abatabbuliiki,  Amir Ummar Sheikh Yunus Kamoga n’abalala basatu okumala emyaka gyabwe egisigadde egy’obulamu mu nkomyo oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango gy’obutujju. 

Abalamuzi; Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kiggundu bavumiridde ekya ba sseeka bano;  Sheikh Yunus Kamoga,Sheikh Multabh Bukenya, Sheikh Siraje Kawooya okudda mu bikolwa eby’obutujju songa amaayi gaabwe baaligamalidde mu bintu ebikulaakulanya wamu n’okugatta abantu bebakulembera.

Bwebabadde basalira bano ebibonerezo, n’abalala babiri abasaliddwa okusibwa emyaka 30, abalamuzi bagambye nti omusango guno gwa nnaggomola nga ebikolwa byagwo birina obulabe ku nsi yonna ku mbeera z’abantu ate ne ku butonde bw’ensi.