Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 229 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Sheebah ne Cindy mulina okukyuusa ku nnyambala – Babaka

September 18, 2023 · Mubiru Ali
Ababaka ba Palamenti okuli; Peggy Wako akiikirira Abakyala abakadde, ne Nsaba Buturo (Bufumbira East) bavuddeyo ne bavumirira ennyambala embi eyayoleseddwa abayimbi
@Sheebah Karungi ne Cindy sanyu bwebaali battunka mu kuyimba ku Lwokutaano oluwedde e Kololo.
Bano bagamba nti ennyambala eno siyawano era nebasaba Minisitule evunaanyizibwa ku Tekinologiya n’okuluŋŋamya Eggwanga okuvaayo eyogere ku nsonga eno ng’Eggwanga terinaba kubbira mu buseegu buno.
Omubaka Peggy Wako ategeezezza nti abayimbi balina okwetwala ng’abantu ab’omugaso ennyo mu Ggwanga kubanga obubaka bungi obuyita mu nnyimba zaabwe nga kyokka bwebasalawo okutandika okweweebula bagenda kuba basudde obubonero bungi ekiyinza n’okubaviirako okufiirwa omulimu gwabwe.