Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 554 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Semeo akakasa nti ab’e Mubende baamusaba eky’okuggya ekkomo ku myaka

October 30, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Kasanda ey'amaserengeta  Semeo Nsubuga Muwanga asekeredde abo ababadde bagamba nti abantu mu kitundu kye tebawagira kya kukwata ku semateeka w'eggwanga okukyusa ennyingo ya 102b.

Semewo Nsubuga bino abyogeredde ku kyalo Nkokoma mu Ggombolola ye Kiganda e Mubende era n'asekerera abo bonna ababadde bagamba nti tasobola kulinnya bigere mu kitundu ky'akiikirira n'agamba nti bano boogera byabwe.

Annyonnyodde nti abantu bonna bazzenga asisinkana mu kitundu kino bazzenga bamusaba okukwata mu ssemateeka okuggyawo ekkomo ku myaka gy'o omukulembeze w'eggwanga era n'ategeeza nti Banna Mubende bawagizi nnyo ba NRM nga n'o lutalo olwaleeta  eno mu buyinza gye lwatandikira.