Breaking
News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire. News: Eggwanga lya Senegal kyaddaaki likakasiddwa nga linantameggwa lya Africa Cup of Nations AFCON 2025 oluvannyuma lwokuwangula okujjulira
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 56 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Sejusa tasabangako kuwummula magye – Brig. Musanyufu .

March 11, 2016 · Mubiru Ali
Brig. Musanyufu
Brig. Musanyufu

Kooti y’ekinnamagye  e Makindye ezzeemu okuwulira omusango gwa eyaliko omukwanaganya w’ebitongole ebikkessi General David Sejusa era w’ekitegeeredde nti Ssejusa  tasabangako kuva mu mirimu gya magye .

Obujulizi buweereddwa Brig. Joseph Musanyufu – Chief of Personnel and Administration mu magye g’eggwanga – UPDF alabiseeko mu kooti y’ekinnamagye okuwa obujulizi .

Musanyufu agamba nti Sejusa tassangayo kusabakwe mu butongole okw’okunnyuka emirimu gy’ekinnamagye era yafulumidde mu lukalala lw’abamagye olufulumye mu mwaka guno 2016 ku namba ROO31  . Ayongerako nti Sejusa akyali munnamagye omujjuvu eyateeka omukono ku ndagaano y’okuweereza amagye obulamu bwe bwonna , nti era yamenya amateeka bweyewaggula n’ava ku mirimu okugenda e Bungereza .

Wabula ye General ejusa addiziddwayo mu nkomyo e Luzira okutuusa nga 18 . 03. 2016 .  lw’anaakomezebwawo mu kooti .