Dennis Daniel Ssemugenyi, omu ku baali baagala okwesimbawo ku bwa Pulezidenti eyalemererwa okuweza emikono egimusemba okwesimbawo ku bwa Pulezidenti ngayita mu Bannamateeka be atutte Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda mu Kkooti ngayagala baddemu okuyita mu mikono gyeyawaayo egyagaanibwa.
Akakiiko kakakasizza nti kafunye empaaba yabano era kakubitunulamu.
#ffemmwemmweffe
Akwatidde ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC bendera ku kifo kya Pulezidenti @Nathan Nandala Mafabi aweereddwa Ssatifikeeti ekakasa nti yawezezza emikono egimusemba okwesimbawo ku kifo kya Pulezidenti okuva mu Kakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda.
Kati abakakasibwa bali 2 bokka Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akwatidde ekibiina kya National Resistance Movement – NRM bendera ne Nandala Mafabi owa NRM.
#ffemmwemmweffe
Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda mu Democratic Front (DF) Henry Lubowa avuddeyo nawanjagira abo bonna abatafunye kkaadi mu National Resistance Movement – NRM wamu ne National Unity Platform okudduka zambwa befunire kkaadi za DF.
Ono agamba nti DF yayongezzaayo enaku ezokukwatirako empapula okuva eri abo bonna abaagala okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo nekigendererwa ekyokuwa omukisa abo abasuuliddwa ebibiina ebirala.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM olunaku lw’eggulo ku State Lodge e Nakasero yasisinkanye abesimbawo ku kya Ssentebe wa NRM owa Entrepreneurs League okuli; Hon. Sanja Tanna, Kakuru Phillip, H.E. King Ceasor Mulenga ne Al Hajj Hassan Basajjabalaba bwebatyo nebakiriziganya ekifo kino okukirekera Basajjabalaba, nayitamu nga tavuganyiziddwa.
Pulezidenti yasiimye nnyo Rt. Hon. Thomas Tayebwa olwokutabanganya bano nebatuuka kunzikiriziganya.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo ku mukutu ggwe ogwa X neyemulugunya ku ngeri abaagala okwesimbawo ku kifo ky’Omukulembeze w’Eggwanga kyebakifuddemu ekyolejeregerero nga bataddemu ne katemba.
Katikkiro agamba nti ekifo kya Pulezidenti kyadivuganyiziddwako abantu abalina ebisaanyizo; nga balina okumanya, obusobozi bwokugonjoola ensonga okusobozesa Eggwanga okuyitimuka wamu n’enguga ey’amateeka mu Uganda. Ayongeddeko nti olwebeeya lw’abantu abali eyo mu 190, ekigendererwa kyakunabuula makulu ga byakulonda nga kino kyadiviirako abantu obutalonda.

