Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Sakwa ddako ebbali bakunoonyerezeeko – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira RDC w’e Jinja Eric Sakwa addeko ebbali ave mu offiisi okumala emyezi 2 okusobozesa okunoonyereza ku misango egimuvunaanibwa okuli ogw’obutemu basobole okuzuula ekituufu nti oba ddala yaliwo mu kifo ekyo mu budde bwebumu nga abasirikale b’eggye ekkuuma byalo bakuba omuntu ekyamuviirako okufa.
Pulezidenti mu bbaluwa agamba nti omusango guno si nsonga yabyabufuzi nti yetaaga okutuula okuteesaako wabula musango gwa nnaggomola.
Bino byonna bizze oluvannyuma lwa Kkooti okulagira Sakwa okudda mu Offiisi nti yayimirizibwa mu bukyaamu era nga ne ssanyu ly’abatuuze libadde lya kiyitamuluggya nga babadde bagumbye ku offiisi nga booza emotoka ye.
📸 Baleke Trevor Solomon

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort