BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Saamanya nti Yasin anvuga omulundi ogusembayo – Zaake

Nga 12 August, 2018 nali Mityana Municipality nga nsisinkana ba Ssentebe ba LC1. Munanku ntono emabega twali tusisinkanyeemu na People Power okuwagira Hon. Kasiano Wadri mu kulonda kwa Arua Municipality era nga Hon Kyagulanyi Robert aka HE Bobi Wine n’abalala baali batuuse dda mu Arua. nali wakubeyungako enkeera ku makya nga 13 August, 2018 wabula oluvannyuma lw’olukiiko ne ba Ssentebe ba LC1 ebirowoozo byange byadda nnyo ku nsonga za Arua Municipality era nensalawo okwolekera Arua wabula nga sirina ddereeva antwala mu Arua kuba Ddereeva wange yalina okutwala n’okukima abaana ku ssomero.

Nakubira Bobi Wine ndabe oba yali asobola okunfunira Ddereeva bwatyo nakubira Yasin Kawuma kati omugenzi nanvuga okuntuusa mu Arua. Twasimbula e Kawempe ssaawa ssatu ez’ekiro era wezawerera ssaawa kumi ez’okumakya nga tuli mu Arua. Nga musanyufu nnyo era nga mwetegefu okukola emirimu gye Yasin yanyumiza ku family ye, ebirowoozo byeyali alina nga musanyuffu nga tayagala ffujjo. Kyannaku nnyo nti Eggwanga lyasalawo okukomya obulamu bwe mungeri nga eyo. Mubulumi obungi saamanya nti omulundi gwenali ntambudde naye gwegwali gusembayo. Saafuna mukisa guziika mukwano gwaffe. Omwoyo ggwe Omukama Katondo aguwumuze mirembe.

Mu ngeri y’emu, ntuusa okusaasira kwange eri ab’ennyumba ya Yasin, nebanaffe abalala betwamanya n’abalala betutamanya abafiira ku mulimu guno ogw’okunnunula Eggwanga. E Mityana abalala bangi battibwa Poliisi ya Yuganda bwebaali bekalakaasa olw’okutusiba. Kino kirina okukoma, Abasirikale abo abatta abantu balina okuvunaanibwa era mu kino Bannamateeka baffe batandise dda okugoberera ensonga zino kuba aba Family zaabwe betaaga obwenkanya.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply