Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

saabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agabudde abaana abaliko obulemu wamu nabo abatalina mwasirizi

April 1, 2021 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agabudde abaana abaliko obulemu wamu nabo abatalina mwasirizi ebyokulya bya Paasika.
Mu biweereddwayo kuliko; Omuceere, Sukaali, Amakolooni, Obushera, Butto, Ssabbuuni, Soda, Omunnyo, n’ebirala.
Bino biweereddwa aba, Sanyu Babies Home, Kampala School For The Physically Handicapped Children ku balintuma e Mengo, Bakateyamba e Nalukolongo.
Akwanaganya ebyemirimu mu kitongole kya Nkuluze, Simon Ssenkayi yatuusizza obubaka buno okuva ewa Beene.
Abatwala ebifo bino bebazizza Ssaabasajja Kabaka bulijjo okubalowozangako nabo nebafuna ebyetaago ng’abantu abalala.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima okukyalako e Nalukolongo mu maka ga Bakateyamba ng’ebimu ku bikujjuko byokukuza amazaalibwa ge ag’e 65 omwaka oguwedde, wabula olw’ekirwadde kya Covid19 kino tekyasoboka.