Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 486 listening Simba FM Live

Rukutana ateereddwa ku kakalu ka Kkooti

September 15, 2020 · Mubiru Ali

Omubeezi wa Minisita ow’Abakozi, emirimu n’ebyamakolero Mwesigwa Rukutana ateereddwa ku kakalu ka Kkooti olunaku olwaleero. Rukutana abadde ku alimanda mu kkomera e Kitalya erisangibwa mu Disitulikiti y’e Wakiso ateereddwa Omulamuzi Sarah Kolya Mponye ku bukadde 4 obwobuliwo mu Kkooti y’e Ntungamo.

Ono avunaanibwa n’Abakuumi be 2 okukuba amasasi emotoka y’omuwagizi wa gweyali avuganya Naome Kabasharira nalumya Dan Rwibirungi.

Rukutana yeyimiriddwa abantu bano nga bano basasudde obukadde 50 buli obutali bwabuliwo okubadde; Jim Muhwezi, Robert Kabonero, Michael Mawanda, ne Haji Ali Mutebi. Rukutana alagiddwa okuleka ppaasipooti ye mu Kkooti.

Wabula bbo bavunaanibwa nabo okuli Egec Paul, Kozala Faisal ne Okello John Bosco bakyali mu nkomyo. Rukutana wakudda mu Kkooti nga 3 – November.