Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 292 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Ruhinda yesowoddeyo okuvuganya Pulezidenti Museveni

July 2, 2025 · Mubiru Ali

Oluvannyuma lwa Ssentebe w’Akakiiko k’Ebyokulonda mu Kibiina kya National Resistance Movement – NRM Dr. Tanga Odoi okwekyuusa nalangirira olunaku lweggulo nti oyo yenna eyandyagadde okuvuganya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku kifo ky’obwa Ssentebe wa NRM wamu n’okukwatira ekibiina bendera ku kifo kyobwa Pulezidenti okugenda okukima empapula,
Daudi Ruhinda Maguru avuddeyo nakima empapula okusaba okukwatira ekibiina bendera ku kifo kyobwa Pulezidenti bwasasudde ensimbi obukadde 20 ezirina okusasulibwa.
Ono agamba nti agenda kufuba okulaba nti obuli bw’enguzi abulwanyisa okuggwa mu Ggwanga.
#ffemmwemmweffe