Referee eyalamula ogwa Vipers SC ne Police FC abonerezeddwa

Ekibiina ekivunaanyizibwa ku mupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA)kivuddeyo nekiyimiriza National Assistant Referee Mr. Juma Osire okumala omwezi gumu.
Okwemulugunya kwatekebwayo eri Akakiiko akakwasisa empisa ku Juma Osire olwokukola ensobi engenderere mu mupiira ogwali wakati wa Vipers SC ne Uganda Police Football Clubnga 19 February 2021 ku St Mary’s Kitende Stadium.
Juma yagaba Kkaadi emyuufu bweyali ayimiridde mu kifo weyali talabira bulungi nagiwa omuzannyi wa Police FC Ochan Derrick shirt no.19.
Akakiiko kaba Referee akakwasisa empisa aka FUFA Referees Disciplinary Panel (FRDP) kawuliriza okwewozaako kwa Juma Osire nekazuula bino:
Ebyazuuliddwa;
1. Juma Osire Referee era akwatibwako amateeka agafuga ba Referee.
2. Akakiiko kazudde nti Referee yakola ensobi okugaba Kkaadi emyuufu.
Okusalawo:
Juma Osire awereddwa okumala omwezi gumu okuva nga 3 March 2021.

Leave a Reply