Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 139 listening Simba FM Live

Red Cross etandise okwojiwaza abantu ku namuttikwa w’enkuba

August 8, 2016 · Mubiru Ali

Uganda Red Cross Society, ekimu ku bitongole ebidduukirize mu ggwanga kitandise Kampeyini mwekyagala okuyita okwojiya abantu naddala mu bifo ebiyinza okuba ebyobulabe kubanga enkuba etandise okwelula n’okufudemba mu bitundu ebitali bimu e by’egwanga, kubanga bw’eneetonnya wandibaawo okuyimbulukuka kw’ettaka n’ebitundu ebimu amazzi okwanjaala ate ebirala ne gafuukira ddala amataba.

Kino kyekiddiridde ebifo enkuba byetonnyeemu gamba nga e Bundibugyo ย mu bugwa njuba bwa Yuganda n’ebitundu nga eby’ensozi gambalagala ez’e Masaaba ettaka neriyimbulukuka enfunda eziwera, abantu abasinga nebafa ate abalala amayumba gaabwe negagwa, ebirime ebisinga nebisanyizibwawo , ensuku n’ebintu ebirala abantu abasinga nebatandika kwanjala ngalo.

Irene Nakasiita ayogerera ekitongole kya Uganda Red Cross Society ayogeddeko n’omusasi waffe nga gamba,

” Tutandise omusomesa abantu, tubawa message ezibategeeza okuba prepared kubanga n’emabegako awo ennyumba mukaaga zaatokomokedde mu namuttikwa w’enkuba mu Mt. Rwenzori Area”.ย