Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 66 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

RDC wa Mityana atiisatiisizza okukwata abasawo abagayaavu

June 9, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka wa Pulezidenti atuula e Mityana Capt. Yahaya Kakooza atiisatiisizza okukwata abasawo abavunaanyizibwa ku kuddukanya eddwaliro ly’e Nakaseeta Health Centre II n’okuwa abalwadde obujjanjabi nga bano kigambibwa nti bayitirizza okutuuka ekikeerezi ku mirimu n’abalala okugendayo lwebaagadde, ekintu ekitadde obulamu bw’abalwadde mu matigga .

RDC okugenda ku ddwaliro kiddiridde okumuloopera nga abalwadde bwebasiiba ku dwaliro nga bali nneemagaza nga tebalabye basawo yadde okufuna omusawo yenna abakolako newankubadde nga basiyagguka engendo empanvu okutuuka ku ddwaliro lino kyokka nebakottokera busa.

Ono agasseeko nti n’embeera eddwaliro gyelirimu mbi nga lisangiddwa nga lizise sinakindi nga nalyo lyennyini liyinza okulwaza abalwadde ate ababa bazze okujjanjabibwa.