Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 359 listening Simba FM Live

RDC wa Bugweri alaajana talina ntambula

July 16, 2020 · Mubiru Ali

RDC wa Disitulikiti y’e Bugweri Omw. Gad Rugaju Ahimbisibwe, alaajanidde abazirakisa okuvaayo bamuduukirire nentambula asobole okukola emirimu gye nga nebwekanaaba kaggaali maanyigakifuba ajja kukaaniriza.
Kino kidiridde CAO wa Disitulikiti Omw. Mukose Jonathan okumujjako emotoka nnamba UG 3403R emu ku z’ebitongole bya Disitulikiti gyabadde akozesa nga agamba nti eyiye yafa.
CAO agamba nti RDC teyayita mu mitendera mituufu okugitwala naleka emirimu egimu nga gizingamye olw’entambula.