Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 227 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

RDC wa Bugiri Mwanamuyiza afuumuddwa

July 26, 2017 · Mubiru Ali

RDC mu Disitulikiti y’e Bugiri,  Margret Mwanamuyiza Kikomeko agobeddwa yafeesi ya Pulezidenti ku mulimu olw’ebigambibwa nti alemereddwa okuba kalabaalaba w’enteekateeka za Gavumenti ate n’okufuna obugagga mu ngeri etategeerekeka.

Mwanamuyiza okugobwa  kiddiridde abatuuze boomu kitundu kino okwekubira enduulu eri omukulembeze w’eggwanga nga bakukkulumira RDC ono amaze emaze emyaka 12 mu kifo kino olw’okwenyigira mu kulya enguzi wamu n’obubbi bw’ettaka mu Disitulikiti eno.

Amyuka RDC e Jinja Vincent Kamugisha yaasindikiddwa e Bugiri agire ng’akola mu kifo kya Mwanamuyiza agobeddwa .