Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 352 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

RDC agombeddwamu obwala lwa mivuyo gya ttaka – Katakwi

August 30, 2017 · Mubiru Ali

RDC wa Disitulikiti y’e Katakwi Ambrose Mwesigye akwatiddwa ku biragiro by’omulamuzi Catherine Bamugemereire nga entabwe evudde ku ttaka ly’ekyalo Lwebitonga mu Disitulikiti y’e Hoima okwasengulwa abantu omugagga Tibagwa.

Bino byebiddiridde akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire okutandika emirimu olunaku olwa jjo mu Disitulikiti y’e Hoima nga abantu bavudde e Bule n’ebweya okwemulugunya ku bikwatagana n’ettaka era nga wano akakiiko kakizudde nti omugagga Tibagwa yayambibwako ab’ebyokwerinda nga bakulemberwamu RDC Ambrose Mwesigye eyali omubeezi wa RDC mu kiseera ekyo.ย 

Awo nno Mwesigye okukwatibwa kivudde ku kubuuzibwa kajijoji w’ebibuuzo ng’atamwatamwa olwo nno omulamuzi n’alagira akwatibwe atwalibwe ku Police yoomu kitundu ekyo.ย 

Omulamuzi era atabukidde n’omugagga Tibagwa olw’okusengula abantu mu ngeri etali nnungamu!!ย