Radio ne TV muzifudde kaddaala kakwevuma – Mutabaazi

Executive Director w’ekitongole ekivunaanyizibwa ky by’empuliziganya mu ggwanga (UCC) Godfrey Mutabaazi avuddeyo n’alaga obwenyamivvu eri emikutu gy’ebyempuliziganya naddala egyo egy’amakanisa egifudde emikutu gino akaddaala kokuvumangana buli kadde.

Ono abadde mu lukungaana lwa buli mwaka olwa baweereza ku mikutu gy’emupiziganya egy’enjawulo mu Kampala nagamba nti kyenyamiza okulaba nti amadiini agabadde gamanyiddwa okuteeka empisa mu bantu, ate kati zikosebwa banannyini mikutu ab’enjawulo okuvuma wamu n’okukonjera banaabwe ebitasaana.

Mu lukiiko lwelumu Mutabaazi yakkatiriza ensonga y’amawulire amafu wamu ne program ezitumbula obukyayi mu kifo ky’okusomesa abantu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Poliisi e Jinja yezooba ne Bannakibiina kya FDC