Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 620 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Pulizidenti Musevni asuubiza okugoba CAO we Ssembabule lwanguudo mbi

May 28, 2018 · Mubiru Ali

Pulizidenti alagidde CAO wa Ssembabule Mr Batarengaya Wabwire okunnyonyola lwaki enguudo mbi mu Ssembabule nga ate gavumenti yagulira buli district tractor ezikola enguudo.

Yagambye nti wadde CAO siyalina okukola enguudo naye buvunaanyizibwa bwe okulondoola emirimu egikolebwa.

Yagambye nti yasanze akaseera akazibu okuyita mu nguudo embi okutuuka awabadde omukola. Yagambye nti Oluguudo lwe Ssembabule – Mateete lubi nnyo wadde nga lwakakolebwa emyezi mitono nnyo emabega.
Bwatyo neyebuuza lwaki CAO tamugoba kuba yali akolaki nga enguudo zikolebwa mumbeera yagadibe ngalye.