Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka, News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 190 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Puliida wa Mbabazi asabye abalamuzi basazeemu okulondebwa kwa Museveni.

March 15, 2016 · Mubiru Ali

FB_IMG_1457941025569

Puliida wa John Patrick Amama Mbabazi asabye abalamuzi basazeemu okulondebwa kwa Museveni.

Muhammad Mbabazi (Puliida) agamba nti tewali nsonga ya ssimba kwebaasinziira kulangirira Museveni ku buwanguzi mu kalulu ka nga 18. 02. 2016, okusinziira ku kwewozaako kwa Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu,tewali tteeka limusobozesa kulangirira ย ng’akozesa e byuma bikalimagezi ku byamuweerezebwa okuva my zi disitulikiti.

Mbabazi era ajungunguludde okwewozaako kwa Kiggundu nga akalaatira nti etteeka eririwo lya kukozesa mpapula zi (DR) ez’obuliwo ku bivudde mu kulonda so ssi ku mikutu yadde gyakola bulungi e Kenya, Ghana ne Phillipine

Ayongerako nti ekya Gavumenti okuggyako emikutu gya Yintaneeti kimeya mateeka era kyakugira okunganya obujulizi.