🎵 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akubirizza Abadeventi okwenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi nga bwebasinza n’omutonzi.
Obubaka buno yabutisse 2nd Deputy Prime Minister, Dr Crispus Kiyonga nga n’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Mityana era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’enkulaalana y’ebibuga Hon. Judith Nabakooba yabaddewo ku mukolo gwokutuuza Bishop Pr Godfrey Lubwama owa Mityana Seventh-Day Adventist Church nga Pulezidenti wa West Buganda Field ngomukolo gwabadde mu Kiyudaya, Busimbi Division, Mityana Municipality mu Disitulikiti ye Mityana.
Ye Omubaka Nabakooba yakubirizza abakiriza okwenyigira mu nkola za PDM ezenjawulo. Ono yalabudde Abakulembeze okwewala enguzi nga bagaba ssente za Parish Development Model (PDM). Nabakooba agamba nti yafuna okwemulugunya okuva mu bantu nti tebafunanga muwendo mutuufu ogwessente zebaalina okufuna nga bangi babawanga emitwalo 80.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

